1 Ebyomumirembe 16:8-22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 (B)Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe,
n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 (C)Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12 (D)Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 (E)Ye Mukama Katonda waffe;
okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.
15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 (F)gye yakola ne Ibulayimu,
era n’agirayiza Isaaka.
17 (G)N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 (H)ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
19 (I)Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 (J)Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 (K)ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
so bannabbi bange temubakolanga akabi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.