Ezeekyeri 11:17-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’
18 (B)“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 19 (C)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 (D)Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.