Olubereberye 11:24-32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25 Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
26 (B)Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
Obuzaale bwa Ibulaamu
27 (C)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:
Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 (D)Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 (E)Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 (F)Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 (G)Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,[a] ne babeera omwo.
32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.
Read full chapterFootnotes
- 11:31 Kalani kibuga ekisangibwa mu Mesopotamiya, era ky’ekifo ekikulu awasinzibwa omwezi, ng’ekibuga ky’e Uli bwe kiri.
Genesis 11:24-32
New International Version
24 When Nahor had lived 29 years, he became the father of Terah.(A) 25 And after he became the father of Terah, Nahor lived 119 years and had other sons and daughters.
26 After Terah had lived 70 years, he became the father of Abram,(B) Nahor(C) and Haran.(D)
Abram’s Family
27 This is the account(E) of Terah’s family line.
Terah became the father of Abram, Nahor(F) and Haran. And Haran became the father of Lot.(G) 28 While his father Terah was still alive, Haran died in Ur of the Chaldeans,(H) in the land of his birth. 29 Abram and Nahor(I) both married. The name of Abram’s wife was Sarai,(J) and the name of Nahor’s wife was Milkah;(K) she was the daughter of Haran, the father of both Milkah and Iskah. 30 Now Sarai was childless because she was not able to conceive.(L)
31 Terah took his son Abram, his grandson Lot(M) son of Haran, and his daughter-in-law(N) Sarai, the wife of his son Abram, and together they set out from Ur of the Chaldeans(O) to go to Canaan.(P) But when they came to Harran,(Q) they settled there.
32 Terah(R) lived 205 years, and he died in Harran.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.
NIV Reverse Interlinear Bible: English to Hebrew and English to Greek. Copyright © 2019 by Zondervan.
