Add parallel Print Page Options

Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa

(A)Luno lwe lulyo lwa Adamu.

Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. (B)Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”

(C)Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. (D)Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.

Read full chapter