Add parallel Print Page Options

(A)Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
    olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
    ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
    n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 (B)Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
    ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
    okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 (C)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
    emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.

Read full chapter