Isaaya 29:9-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Muwuniikirire era mwewuunye
Muzibirire era muzibe amaaso;
Batamiire, naye si na nvinnyo,
batagala, naye si lwa mwenge.
10 (B)Mukama akuwadde otulo tungi,
azibye amaaso gammwe bannabbi,
era abisse emitwe gyammwe abalabi.
11 (C)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”
13 (D)Mukama agamba nti,
“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
biragiro abantu bye baayigiriza.
14 (E)Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.
Amagezi g’abagezi galizikirira,
n’okutegeera kw’abategeevu
kuliggwaawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.