Isaaya 10:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye kino si kye kigendererwa kye,
kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
okumalirawo ddala amawanga mangi.
Mikka 4:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Kyokka kaakano amawanga mangi
gakuŋŋaanye okubalwanyisa.
Boogera nti, Ayonoonebwe,
n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
Mikka 4:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Naye tebamanyi
birowoozo bya Mukama;
tebategeera kuteesa kwe;
oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.