Add parallel Print Page Options

16 (A)Mukama Katonda agamba nti,
    “Abakazi b’omu Sayuuni[a] beemanyi,
era batambula balalambazza ensingo
    nga batunuza bukaba.
Batambula basiira
    nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni,
    ne gifuuka gya biwalaata.”

18 (B)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (C)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:16 Sayuuni lusozi olusangibwa mu Yerusaalemi