Add parallel Print Page Options

“Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago. (A)Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka. (B)N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Ekibi n’Okubonerezebwa

(C)“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
    Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
(D)Kale lwaki abantu bange bano
    banvaako ne bagendera ddala?
(E)Nawuliriza n’obwegendereza
    naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
    ‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
    ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
(F)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
    bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
    bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
    tebamanyi biragiro bya Mukama.”

(G)Muyinza mutya okwogera nti,
    “Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
    yeebikyusizza.
(H)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
    era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
    magezi ki ge balina?
10 (I)Noolwekyo bakazi baabwe
    ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
    zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
    nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 (J)Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
    babikomya kungulu nga boogera nti,
    Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 (K)Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
    Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
    so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
    balikka lwe balibonerezebwa,”
    bw’ayogera Mukama.

13 (L)“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
    bw’ayogera Mukama.
    Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
    n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
    biribaggyibwako.

14 (M)Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
    Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
    tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
    era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
    kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 (N)Twasuubira mirembe
    naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
    naye waaliwo ntiisa.
16 (O)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
    ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
    ensi ne byonna ebigirimu,
    ekibuga ne bonna abakibeeramu.

17 (P)“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
    amasalambwa g’otasobola kufuga,
    emisota egyo girikuluma,”
    bwayogera Mukama.

18 (Q)Nnina ennaku etewonyezeka,
    omutima gwange gwennyise.
19 (R)Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
    okuva mu nsi ey’ewala.
Mukama taliimu mu Sayuuni?
    Kabaka we takyalimu?”

“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,
    bakatonda abalala abatagasa?”

20 “Amakungula gayise,
    n’ekyeya kiyise,
    tetulokolebbwa.”

21 (S)Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.
    Nkaaba ne nzijula ennaku.
22 (T)Teri ddagala mu Gireyaadi?
    Teriiyo musawo?
Lwaki ekiwundu ky’abantu bange
    tekiwonyezebwa?
(U)Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga
    n’amaaso gange luzzi lwa maziga,
nnandikaabye emisana n’ekiro
    olw’abantu bange be batta!
(V)Woowe singa mbadde n’ekisulo
    ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
    ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
    bibiina by’abasajja ab’enkwe.

(W)“Bategeka olulimi lwabwe
    ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
    naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
    era tebammanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
(X)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
(Y)Mubeera wakati mu bulimba;
    mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

(Z)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
    kiki ate kye nnaakolera abantu bange
    kubanga boonoonye?
(AA)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
    lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
    naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
(AB)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
    bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
    eriri nga lino?”

10 (AC)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

11 (AD)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
    ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
    waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

12 (AE)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?

13 (AF)Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. 14 (AG)Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” 15 (AH)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. 16 (AI)Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”

17 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
    era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (AK)Leka bajje mangu
    batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
    n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (AL)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
    ‘Nga tunyagiddwa!
    Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
    kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”

20 (AM)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
    era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
    era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 (AN)Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
    kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
    n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.

22 (AO)“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
    gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
    emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”

23 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
    oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
    oba omugagga mu bugagga bwe.
24 (AQ)Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
    nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
    n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
    kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
    bw’ayogera Mukama.

25 (AR)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 26 (AS)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”