Add parallel Print Page Options

20 Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. 21 (A)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. 22 (B)Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! 23 (C)Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. 24 (D)Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!”

Abakooye n’Abazitoowereddwa

25 (E)Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato. 26 Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.”

27 (F)“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.”

28 (G)“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. 29 (H)Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. 30 (I)Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”

Read full chapter