Add parallel Print Page Options

Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna

(A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
    olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
    okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
    era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.

(B)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
    tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
    n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
(C)Aliramula amawanga
    atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
(D)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
    ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
    kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
(E)Newaakubadde nga amawanga gonna
    galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
    Katonda waffe emirembe n’emirembe.

Isirayiri ewona Obusibe

(F)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,

“Ndikuŋŋaanya abalema,
    n’abo abaawaŋŋangusibwa
    n’abo abali mu nnaku.
(G)Abalema ndibafuula abalonde,
    n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
    okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
(H)Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga,
    ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni,
ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira,
    n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”

(I)Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?
    Temulina kabaka abakulembera?
Omuwi w’amagezi wammwe yafa,
    ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 (J)Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni
    ng’omukazi alumwa okuzaala.
Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga
    ogende obeere ku ttale.
Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,
    era eyo gye ndibalokolera.
Ndibanunulira eyo
    okuva mu mukono gw’omulabe.

11 (K)Kyokka kaakano amawanga mangi
    gakuŋŋaanye okubalwanyisa.
Boogera nti, Ayonoonebwe,
    n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
12 (L)Naye tebamanyi
    birowoozo bya Mukama;
tebategeera kuteesa kwe;
    oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.

13 (M)“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni,
    kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma;
ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo
    era olibetenta amawanga mangi.”

Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama,
    n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.

Omufuzi ava mu Besirekemu

(N)Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,
    kubanga tulumbiddwa.
Omukulembeze wa Isirayiri
    balimukuba omuggo ku luba.

(O)“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
    newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
    omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
    ng’ensi tennabaawo.”

Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo
    okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo
    eri bannaabwe mu Isirayiri.

(P)Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
    mu maanyi ga Mukama,
    mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
    okutuusa ku nkomerero y’ensi.
    (Q)Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe
    n’abuna ebigo byaffe,
tulimuyimbulira abasumba musanvu,
    n’abakulembeze munaana.
(R)Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala
    era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.
Naye alitulokola eri Omwasuli
    bw’alitulumba mu nsi yaffe
    era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.

(S)Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
    wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
    ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
    oba abaana b’abantu.
(T)Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
    abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
    bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
    ne wataba n’omu aziwonya.
(U)Omukono gwo guliwangula abalabe bo,
    ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.

10 (V)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,

“Ndizikiriza embalaasi zo
    ne nsanyaawo n’amagaali go.
11 (W)Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo
    era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12 (X)Obulogo bwo ndibumalawo
    era toliddayo kukolima nate.
13 (Y)N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
    Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
    be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14 (Z)Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,
    ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15 (AA)Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde
    n’obusungu n’ekiruyi.”

(AB)Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,

“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,
    n’obusozi buwulire bye mugamba.

(AC)“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;
    nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.
Mukama alina ensonga ku bantu be
    era agenda kuwawabira Isirayiri.

(AD)“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
    Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
(AE)Nabaggya mu nsi ye Misiri
    ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
    ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
(AF)Mmwe abantu bange mujjukire
    ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
    n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
    mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”

(AG)Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
    nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
(AH)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
    oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
    nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
(AI)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
    Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
    era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.
    “Kya magezi ddala okutya erinnya lye,
    n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
10 (AJ)Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
    mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
    erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 (AK)Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
    alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
12 (AL)Abagagga baakyo bakambwe
    n’abatuuze baamu balimba
    n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
13 (AM)Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,
    nkumalewo olw’ebibi byo.
14 (AN)Onoolyanga, naye n’otokutta,
    era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.
Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka
    kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
15 (AO)Olisiga naye tolikungula,
    oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,
    olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
16 (AP)Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli
    n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu
    n’ogoberera n’emizizo gyabwe,
kyendiva nkufuula ekifulukwa,
    n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa
    era olibaako ekivume ky’amawanga.”
Ddala zinsanze nze.
    Ndi ng’omuntu akungula ebibala
    okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
    wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
(AQ)Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
    tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
    buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
(AR)Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
    omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
    n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
    nga basala enkwe.
(AS)Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
    asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
    era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
(AT)Tewesiga muntu n’omu,
    wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
    Weegendereze by’oyogera.
(AU)Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
    n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
    Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.

(AV)Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
    nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.

(AW)Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
    kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
    Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
(AX)Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
    kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
    n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
    era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 (AY)Olwo omulabe wange alikiraba,
    n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
    “Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
    era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

11 (AZ)Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
    olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 (BA)Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
    nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
    n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 (BB)Ensi erifuuka matongo,
    olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.

Okusaba N’okutendereza

14 (BC)Lunda abantu bo n’omuggo gwo,
    ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
    mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.

15 (BD)Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
    nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.

16 (BE)Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
    ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
    n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 (BF)Balirya enfuufu ng’omusota,
    ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
    ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 (BG)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
    asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
    abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
    naye asanyukira okusaasira.
19 (BH)Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
    n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 (BI)Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
    n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
    okuva mu nnaku ez’edda.