Okubala 34:16-29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abasajja Abaalondebwa Okugabanyaamu Ensi
16 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 17 (A)“Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 18 (B)Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.
19 (C)“Gano ge mannya gaabwe:
“Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.
20 (D)Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.
21 (E)Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.
22 Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.
23 Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.
24 Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.
25 Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.
26 Palutiyeri mutabani wa Azani
nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,
27 (F)ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,
28 ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”
29 Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.