Engero 30:15-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ekinoso kirina bawala baakyo babiri
abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”
Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,
weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16 (B)Amagombe,
olubuto olugumba,
ettaka eritakutta mazzi,
n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”
17 (C)Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,
era n’atagondera nnyina,
liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,
ne liriibwa ensega.
18 Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,
weewaawo bina bye sitegeera:
19 Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,
n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,
n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,
n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.
20 (D)Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:
alya n’asiimuula emimwa gye
n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
21 Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu
weewaawo bina:
22 (E)omuweereza bw’afuuka kabaka,
n’omusirusiru bw’akutta emmere;
23 n’omukazi eyadibira mu ddya;
n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.
24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,
ebirina amagezi amangi ennyo.
25 (F)Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,
naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26 (G)obumyu busolo bunafu
naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 (H)enzige tezirina kabaka,
kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28 omunya oyinza okugukwasa engalo,
naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.
29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,
weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;
31 sseggwanga,
n’embuzi ennume,
ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.