Okubikkulirwa 7:14-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”
N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 15 (B)Kyebavudde
“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda
    nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.
Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,
    anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 (C)Tebaliddayo kulumwa njala
    wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
    wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 (D)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
    y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
    Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.