Isaaya 49:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa
22 (A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
Isaaya 49:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.