Add parallel Print Page Options

12 (A)Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
    n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
    Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
    tanywa mazzi era akoowa.
13 (B)Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
    era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
    n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
    kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
    oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
    enkuba n’egikuza.
15 (C)Abantu bagukozesa ng’enku,
    ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
    Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
    akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
    ekitundu ekirala akyokesa ennyama
    n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
    “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 (D)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
    ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
    “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”

Read full chapter