Isaaya 1:15-23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
16 (B)Munaabe, mwetukuze
muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
mulekeraawo okukola ebibi.
17 (C)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
muwolerezenga bannamwandu.
18 (D)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 (E)Bwe munaagondanga ne muwulira,
munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 (F)naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21 (G)Laba ekibuga ekyesigwa
bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 (H)Abafuzi bo bajeemu,
mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.