Add parallel Print Page Options

14 (A)Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.

15 “Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula. 16 Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 17 Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ya Mukama ozikole bw’otyo. 18 Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 19 era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 20 Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema ya Mukama okolereyo embaawo amakumi abiri, 21 n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo. 22 Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema; 23 era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo. 24 Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta. 25 Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.

26 “Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 27 ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 28 Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 29 Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu.

Read full chapter