1 Ebyomumirembe 21:14-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. 15 (B)Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 (C)Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
17 (D)Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.