Add parallel Print Page Options

17 (A)Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna. 18 (B)Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa. 19 (C)Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda. 20 (D)Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21 Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 22 (E)Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 23 (F)Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24 (G)Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

Abatali bafumbo ne bannamwandu

25 (H)Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange. 26 (I)Kino nkirowooza nga kirungi, olw’embeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27 Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa. 28 Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.

29 (J)Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina. 30 N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe. 31 (K)Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

32 (L)Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33 Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 34 (M)aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba. 35 (N)Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

36 (O)Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. 37 Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. 38 (P)Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.

39 (Q)Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. 40 (R)Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

Ebiweereddwayo eri bakatonda abalala

(S)Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba. (T)Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya. (U)Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.

(V)Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. (W)Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi. (X)Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

(Y)Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka. (Z)Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.

(AA)Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza. 10 Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. 11 (AB)Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo! 12 (AC)Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. 13 (AD)Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Ebigwanira omutume ne by’ateekwa okukola

(AE)Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? (AF)Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.

Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. (AG)Sirina buyinza kulya na kunywa? (AH)Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa[a], ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? (AI)Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?

(AJ)Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? (AK)Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 (AL)oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 (AM)Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 (AN)Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.

Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 13 (AO)Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 (AP)Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.

15 (AQ)Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa. 16 (AR)Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 17 (AS)Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 18 (AT)Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

19 (AU)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (AV)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (AW)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (AX)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.

24 (AY)Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 (AZ)Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 (BA)Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Okulabula ku Bakatonda Abalala

10 (BB)Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, (BC)era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. (BD)Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.

Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. (BE)Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.” (BF)Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. (BG)Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 10 (BH)Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.

11 (BI)Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 12 (BJ)Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa. 13 (BK)Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

14 Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. 15 Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo. 16 (BL)Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? 17 (BM)Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.

18 (BN)Mulabe Isirayiri ow’omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? 19 (BO)Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 20 (BP)Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 21 (BQ)Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.

22 (BR)Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 23 (BS)Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 (BT)Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.

25 (BU)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 (BV)Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.

27 (BW)Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 (BX)Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 (BY)bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 (BZ)Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?

31 (CA)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 (CB)Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 (CC)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.

11 (CD)Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

Okubikka ku mutwe mu kusinza

(CE)Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza. (CF)Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. (CG)N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri. Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. (CH)Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja. (CI)Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja. (CJ)Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja. 10 Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe. 11 Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. 12 (CK)Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.

13 Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. 14 Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, 15 ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. 16 (CL)Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

Ekyekiro kya Mukama waffe

17 (CM)Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. 18 (CN)Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. 19 (CO)Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. 20 Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. 21 (CP)Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.

22 (CQ)Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. 23 (CR)Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati, 24 ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” 25 (CS)Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.” 26 Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.

27 (CT)Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 28 (CU)Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29 Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30 Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 31 (CV)Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 32 (CW)Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi. 33 Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne. 34 (CX)Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.

Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu

12 (CY)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. (CZ)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. (DA)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

(DB)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. (DC)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.

(DD)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. (DE)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. (DF)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (DG)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (DH)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.

Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi

12 (DI)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (DJ)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (DK)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (DL)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.

21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.

27 (DM)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (DN)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (DO)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (DP)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

Okwagala

13 (DQ)Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala. (DR)Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. (DS)Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

(DT)Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. (DU)Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. (DV)Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

(DW)Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma. (DX)Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu. 10 (DY)Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo. 11 Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito. 12 (DZ)Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

13 (EA)Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.

Ebirabo eby’Omwoyo

14 (EB)Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi. (EC)Kubanga ayogera mu nnimi tayogera n’abantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali n’omu ategeera by’agamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo. (ED)Naye oyo ategeeza abantu eby’obunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era n’okubazzaamu amaanyi. (EE)Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera eby’obunnabbi azimba ekibiina kyonna eky’abakkiriza. (EF)Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.

(EG)Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda by’ambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba eby’obunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa. Era n’ebivuga ebitalina bulamu, ng’endere oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi gategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa? (EH)Era singa omufuuyi w’eŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? Mu ngeri y’emu, bwe mwogera n’omuntu mu lulimi lw’atamanyi, asobola atya okutegeera kye mugamba? Muba mwogeredde bwereere. 10 Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu. 11 Naye omuntu bw’ayogera olulimi lwe simanyi, aba ng’omugwira gye ndi, nange mba ng’omugwira gy’ali. 12 Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo eby’Omwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.

13 Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. 14 Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. 15 (EI)Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange. 16 (EJ)Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde? 17 Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.

18 Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. 19 Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere n’amagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.

20 (EK)Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe. 21 (EL)Era kyawandiikibwa mu mateeka nti,

“Ndyogera n’abantu bano
    mu nnimi endala,
n’emimwa egy’abalala,
    naye era tebalimpulira,
    bw’ayogera Mukama.”

22 (EM)Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw’abo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. 23 (EN)Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? 24 Naye singa bonna boogera eby’obunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi n’ayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olw’ebibi bye, yeesalire omusango, 25 (EO)ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Byonna Bikolebwe mu Bulambulukufu

26 (EP)Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda. 27 Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula. 28 Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi w’ennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.

29 (EQ)Kyokka abo aboogera eby’obunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ng’abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. 30 Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga. 31 Kubanga mwenna musobola okwogera eby’obunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi. 32 (ER)Abalina omwoyo ogw’obunnabbi bafugibwa bannabbi, 33 (ES)kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.

Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna, 34 (ET)abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ng’amateeka bwe gagamba. 35 Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga ba bbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.

36 Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti mmwe be kyatuukako mwekka? 37 (EU)Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu ow’omwoyo, ategeere mu bujjuvu nti bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. 38 Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.

39 (EV)Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera eby’obunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza. 40 (EW)Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.

Kristo Yazuukira

15 (EX)Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. (EY)Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. (EZ)Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (FA)era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (FB)era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. (FC)Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. (FD)Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.

(FE)Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 10 (FF)Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11 Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Okuzuukira kw’Abafu

12 (FG)Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13 Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 14 (FH)Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 (FI)Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 (FJ)Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 (FK)Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.

20 (FL)Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. 21 (FM)Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu. 22 (FN)Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. 23 (FO)Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, 24 (FP)olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. 25 (FQ)Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 (FR)Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. 27 (FS)Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna. 28 (FT)Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna.

29 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe? 30 (FU)Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera? 31 (FV)Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku. 32 (FW)Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,

“Kale tulye tunywe
    kubanga enkya tuli ba kufa.”

33 Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34 Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.

Okuzuukira kw’Omubiri

35 (FX)Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 36 (FY)Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37 Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 38 (FZ)Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. 39 Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja. 40 Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala. 41 Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.

42 (GA)Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43 (GB)Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 (GC)Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.

Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo, 45 (GD)kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. 46 Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. 47 (GE)Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. 48 (GF)Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. 49 (GG)Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.

50 (GH)Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. 51 (GI)Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 (GJ)mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 (GK)Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 54 (GL)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

55 (GM)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
    Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

56 (GN)Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 (GO)Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

58 (GP)Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

Okuyamba Abantu ba Katonda

16 (GQ)Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. (GR)Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. (GS)Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.

Enteekateeka za Pawulo

(GT)Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. (GU)Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.

10 (GV)Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11 (GW)Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.

12 (GX)Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.

Ebikomererayo

13 (GY)Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14 Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.

15 (GZ)Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16 muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 17 (HA)Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko[b] bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18 (HB)Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.

19 (HC)Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.

Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.

20 (HD)Era abooluganda bonna babalamusizza.

Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.

21 (HE)Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.

22 (HF)Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!

23 (HG)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

24 Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.

Okulamusa n’Okwebaza

(HH)Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, (HI)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

(HJ)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, (HK)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. (HL)Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. (HM)Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. (HN)Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

(HO)Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. (HP)Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 (HQ)eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 (HR)Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.

Pawulo akyusa mu ntegeka ze

12 (HS)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13 Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 14 (HT)era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 15 (HU)Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 16 (HV)nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 17 (HW)Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

18 (HX)Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 (HY)Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[c] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 (HZ)Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 (IA)Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 (IB)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.

23 (IC)Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso. 24 (ID)Temusaanye kulowooza nti ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.

(IE)Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza. (IF)Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza? (IG)Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna. (IH)Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.

(II)Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si kulwa nga mbazitoowerera mwenna. (IJ)Omuntu ng’oyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kimumala; (IK)kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa n’okumuzzaamu amaanyi si kulwa ng’ennaku emuyitirirako n’emuyinga obungi. Noolwekyo mbakuutira okwongera okumukakasa nti mumwagala. (IL)Kyennava mbawandiikira ndyoke ntegeere obanga muli bawulize mu nsonga zonna. 10 Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo. 11 (IM)Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.

Pawulo mu Tulowa

12 (IN)Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi, 13 (IO)saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.

Obuwanguzi mu Kristo

14 (IP)Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna. 15 (IQ)Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. 16 (IR)Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? 17 (IS)Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

(IT)Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? (IU)Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

(IV)Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. (IW)Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, (IX)oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Ekitiibwa ekiri mu ndagaano empya

(IY)Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa? (IZ)Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. 10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. 11 Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

12 (JA)Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi, 13 (JB)so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako. 14 (JC)Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. 15 Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. 16 (JD)Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo. 17 (JE)Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe. 18 (JF)Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.

Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba

(JG)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. (JH)Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. (JI)Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. (JJ)Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. (JK)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. (JL)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

(JM)Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. (JN)Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10 nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12 Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

13 (JO)Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera. 14 (JP)Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 15 (JQ)Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.

Okuba abalamu olw’okukkiriza

16 (JR)Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. 17 (JS)Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. 18 Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

(JT)Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu. (JU)Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu. Kubanga bwe tulyambazibwa, tetulisangibwa nga tuli bwereere. (JV)Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu. (JW)Oyo eyatuteekerateekera ekintu ekyo kyennyini ye Katonda oyo eyatuwa amazima g’Omwoyo.

Noolwekyo tulina obwesige bulijjo nga tumanyi nti bwe tuba mu mubiri guno, tetuba waffe, olwo nga tetuli na Mukama waffe. (JX)Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lw’amaaso gaffe bye galaba. (JY)Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe. (JZ)Noolwekyo kyetuva tunoonya oba nga tuli ewaffe oba nga tetuli waffe, tumusanyuse. 10 (KA)Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Omukwano ne Katonda nga guyita mu Kristo

11 (KB)Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. 12 (KC)Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. 13 (KD)Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. 14 (KE)Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. 15 (KF)Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, 16 (KG)okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 17 (KH)Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 18 (KI)Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 19 (KJ)Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 20 (KK)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (KL)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

(KM)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. (KN)Kubanga agamba nti,

“Nakuwulira mu biro ebituufu,
    era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”

Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Ebizibu bya Pawulo

(KO)Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa, naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, (KP)ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, (KQ)ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, (KR)ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, (KS)wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. (KT)Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, 10 (KU)nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

11 (KV)Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye. 12 Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna. 13 (KW)Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.

14 (KX)Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza? 15 (KY)Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza? 16 (KZ)Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,

“Nnaabeeranga mu bo
    era natambuliranga mu bo,
nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.”
17 (LA)Noolwekyo “muve wakati mu bo,
    mubeeyawuleko,
    bw’ayogera Mukama.
Temukwata ku bitali birongoofu,
    nange nnaabaaniriza.”
18 (LB)Era “nnaabeeranga Kitammwe,
    nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.

(LC)Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Essanyu lya Pawulo

(LD)Mutuggulirewo emitima gyammwe, kubanga tewali n’omu gwe twasobya. Tewali n’omu gwe twakyamya. Tewali n’omu gwe twali tulyazaamaanyizza. (LE)Bino sibyogera ng’abasalira omusango, kubanga nabategeeza dda nti, Mulina ekifo mu mitima gyaffe, nga tubeera balamu ffenna era nga tufiira wamu nammwe. (LF)Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzamu nnyo; muŋŋumizza nnyo omwoyo ne mundeetera essanyu lingi wakati mu kubonaabona kwange.

(LG)Bwe twatuuka mu Makedoniya tetwasobola kuwummulako, nga twetooloddwa ebibonoobono ebya buli ngeri, ebweru nga waliyo entalo ate munda mu ffe nga tutidde. (LH)Naye Katonda agumya abo ababa batendewereddwa, n’atuzzaamu amaanyi olw’okutuuka kwa Tito. Okujja kwe si kwe kwokka okwatuleetera essanyu, naye n’amawulire agafa gye muli, ge yatuleetera n’engeri ennungi gye mwamwanirizaamu, ne bwe yantegeeza nga bwe mwali mwesunga okujja kwange, n’ennaku gye mwalina bwe mwategeera nga sikyazze, n’obunyiikivu bwammwe, ebyo ne binnyongera essanyu!

(LI)Kuba bwe kiba nga ddala ebbaluwa gye nnabawandiikira yabanakuwaza, sikyejjusa; wabula ddala nkyejjusa, kubanga ebbaluwa eyo yabanakuwazaamu ekiseera kitono. Kaakano nnina essanyu, si lwa kubanga yabanakuwaza, naye lwa kubanga mwanakuwalira ekibi ne mwenenya, ne Katonda n’alaba okunakuwala kwammwe muleme okufiirwa ekigambo kyonna ku lwaffe. 10 (LJ)Kubanga okunakuwala okw’okwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okw’ensi kuleeta kufa. 11 (LK)Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kw’asiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, n’okwennyonnyolako, n’okusunguwala, n’okutya, n’okwegomba, n’okufuba ennyo okwenenya, n’okuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba. 12 (LL)Kale newaakubadde nga nabawandiikira ssawandiika ku lw’oyo eyakola ekibi, newaakubadde oyo gwe bakikola, wabula lwa kunyiikira kwammwe eri Katonda ku lwaffe. 13 (LM)Noolwekyo ebyo byatuzzaamu endasi.

Bwe twaddamu endasi, tweyongera nnyo okusanyuka olw’essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna. 14 (LN)Obanga nnenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe, temwanswaza, naye byonna nga bwe twabibategeeza bwe biri eby’amazima, era n’okwenyumiriza kwaffe ku Tito nakwo ne kuba kwa mazima. 15 (LO)N’okwagala kw’alina kweyongera nnyo gye muli ng’ajjukira okugonda kwammwe mwenna, nga bwe mwamusembeza n’okutya n’okumussaamu ekitiibwa. 16 (LP)Bino byonna bindeetera essanyu lingi, era mbesigira ddala.

Okugaba kw’Abakristaayo

(LQ)Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. (LR)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. (LS)Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda. (LT)Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa. (LU)Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.

(LV)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. (LW)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.

10 (LX)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (LY)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (LZ)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.

13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (MA)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (MB)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”

Tito atumibwa e Kkolinso ne banne

16 (MC)Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe. 17 (MD)Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli. 18 (ME)Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olw’enjiri mu kkanisa zonna, 19 (MF)naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba, 20 nga twewala omuntu yenna okutunenya olw’ekirabo kino kye tuweereza. 21 (MG)Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso g’abantu.

22 Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu. 23 (MH)Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo. 24 (MI)Noolwekyo okwagala kwammwe n’okwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.

Okuyamba Bakristaayo bannaabwe

(MJ)Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; (MK)kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. (ML)Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. (MM)Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. (MN)Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.

(MO)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” (MP)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (MQ)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (MR)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

10 (MS)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (MT)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 (MU)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (MV)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (MW)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Pawulo awolereza omulimu gwe

10 (MX)Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu n’obukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli; (MY)mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri. Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri, (MZ)kubanga ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olw’okuwangula ebigo, n’olw’okuwangula endowooza, (NA)na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo, (NB)era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.

(NC)Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye. (ND)Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi, nneme kufaanana ng’abatiisa mu bbaluwa zange. 10 (NE)Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era z’amaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, n’okwogera kwe kunyoomebwa.” 11 Alowooza bw’atyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.

12 (NF)Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera. 13 (NG)Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe. 14 (NH)Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo, 15 (NI)nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera, 16 (NJ)era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza. 17 (NK)Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; 18 (NL)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.

Pawulo n’abatume ab’obulimba

11 (NM)Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. (NN)Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; (NO)kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. (NP)Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. (NQ)Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.

(NR)Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? (NS)Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, (NT)era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 10 (NU)Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 11 (NV)Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12 Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 13 (NW)Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14 Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana.

Footnotes

  1. 9:5 Keefa ye Peetero
  2. 16:17 Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bandiba nga be baaleetera Pawulo ebbaluwa eyava mu Bakkolinso
  3. 1:19 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira