1 Bassekabaka 17:2-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti, 3 “Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 4 (A)Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.”
5 N’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’alaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, n’abeera eyo. 6 (B)Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n’ennyama buli nkya na buli kawungeezi, era n’anywanga mu kagga.
Nnamwandu ow’e Zalefaasi
7 Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olw’obutabaawo nkuba mu nsi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.