Add parallel Print Page Options

(A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.

Okwebaza olw’okukkiriza kw’Abasessaloniika

(B)Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, (C)nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe,

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:1 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira