2 Samwiri 3:17-21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Abuneeri n’ateesa n’abakadde ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Mumaze ebbanga nga mwagala okufuula Dawudi kabaka wammwe. 18 (B)Kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yasuubiza Dawudi nti, ‘Ndirokola abantu bange Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna, nga nkozesa omuddu wange Dawudi.’ ”
19 (C)Abuneeri n’agenda n’eri Ababenyamini n’ayogera nabo, n’oluvannyuma n’agenda n’ategeeza Dawudi e Kebbulooni, ebyo byonna Isirayiri n’ennyumba ya Benyamini bye baasalawo okukola. 20 Awo Abuneeri n’agenda n’abasajja amakumi abiri ewa Dawudi e Kebbulooni, Dawudi n’abategekera embaga nnene. 21 (D)Abuneeri n’agamba Dawudi nti, “Ka ŋŋenderewo mukama wange Kabaka, nkuŋŋaanye Isirayiri yenna, bakole endagaano naawe, obafuge ng’omutima gwo bwe gunaasiima.” Awo Dawudi n’asindika Abuneeri agende, n’agenda mirembe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.