Add parallel Print Page Options

(A)Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna, 10 (B)omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta. 11 (C)Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”

12 (D)Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.

Read full chapter