Add parallel Print Page Options

Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi

13 (A)Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, 14 n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” 15 Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. 16 Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. 17 Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo. 18 (B)Abakulembeze abakulu b’ekibuga ekyo banaatwalanga bba w’omuwala, banaasookanga okumukubamu. 19 Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi[a]; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.

20 Naye singa omusajja nga by’anaabanga ayogedde bya mazima, nga n’obujulizi obukakasa ng’omuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze, 21 (C)kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.

22 (D)Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.

23 Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, 24 (E)munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.

25 Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga. 26 Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula. 27 Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.

28 (F)Omusajja bw’anasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, n’amukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo, 29 omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano.[b] Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:19 sekeri za ffeeza kikumi zenkanankana kilo emu
  2. 22:29 Sekeri za ffeeza amakumi ataano Zenkanankana nga kitundu kya kilo