Add parallel Print Page Options

14 Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema. 15 Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana. 16 Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, n’entimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo. 17 Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’entimbe ekomererayo ku bwazo, n’eŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gw’entimbe omulala ku bwazo. 18 (A)Ne bakola ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ez’entimbe ezo ng’ekintu ekimu.

Read full chapter