Add parallel Print Page Options

17 (A)Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola? 18 (B)Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, ery’amaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa. 19 (C)Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”

Read full chapter