Olubereberye 12:1-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuyitibwa kwa Ibulaamu
12 (A)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
2 (B)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
olyoke obeere mukisa.
3 (C)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
mwe galiweerwa omukisa.”
4 (D)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. 5 (E)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.
6 (F)Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. 7 (G)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
8 (H)Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. 9 (I)Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu[a].
Read full chapterFootnotes
- 12:9 Negevu kitegeeza ensi enkalu, era lwe lusenyi oludda mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemi n’okudda mu ddungu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.