Olubereberye 49:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Simyoni ne Leevi baaluganda,
ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
Olubereberye 49:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.
Ndibaawula mu Yakobo,
ndibasaasaanya mu Isirayiri.
Zabbuli 83:3-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 (B)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
5 (C)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
6 (D)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
7 (E)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
8 (F)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.
9 (G)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (H)abaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (I)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (J)abaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
13 (K)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.