Koseya 1:9-2:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
10 (A)“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. 11 (B)Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”
2 (C)“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.