Isaaya 16:9-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 (B)Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 (C)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.