Yeremiya 23:33-40
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obubaka Obukyamu ne Bannabbi Aboobulimba
33 (A)“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ 34 (B)Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. 35 (C)Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ 36 (D)Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe. 37 Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’ 38 Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ 39 (E)kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. 40 (F)Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.