Add parallel Print Page Options

21 “Abantu beesunganga okumpuliriza,
    nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 (A)Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,
    ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’enkuba
    ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
    ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 (B)Nabasalirangawo eky’okukola,
    ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;
    nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”

Read full chapter