Yobu 29:21-25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 “Abantu beesunganga okumpuliriza,
nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 (A)Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,
ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’enkuba
ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 (B)Nabasalirangawo eky’okukola,
ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;
nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.