Add parallel Print Page Options

(A)Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
    n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
    mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
    ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
(B)Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
    tebalina kye beebikka mu mpewo.
(C)Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
    ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.

Read full chapter