Add parallel Print Page Options

Enjuba Esikattira

12 (A)Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,

“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,
    naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”
13 (B)Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde
    okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe.

Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.

Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba.

Read full chapter