Add parallel Print Page Options

17 Emmeeme yange terina mirembe,
    n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 (A)Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
    n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
    n’obulumi n’obubalagaze.
20 (B)Mbijjukira bulungi
    era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
    kyenvudde mbeera n’essuubi.

22 (C)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
    tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (D)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
    n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (E)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
    kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

25 (F)Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
    eri oyo amunoonya.
26 (G)Kirungi omuntu okulindirira
    obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
    mu buvubuka bwe.

28 (H)Atuulenga yekka mu kasirise
    kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 (I)Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.

Read full chapter