Add parallel Print Page Options

Abafalisaayo Basaba Yesu Akabonero Akava mu Ggulu

11 (A)Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa. 12 (B)Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.”

Read full chapter