Matayo 6:5-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okusaba
5 (A)“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna. 6 (B)Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye. 7 (C)Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu. 8 (D)Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
9 Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,
Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.
10 (E)Obwakabaka bwo bujje.
By’oyagala bikolebwe mu nsi,
nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11 (F)Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.
12 (G)Tusonyiwe ebyonoono byaffe
nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
13 (H)Totuganya kukemebwa
naye tulokole eri omubi.[a]
Footnotes
- 6:13 Kyavumbulibwa luvannyuma mu mizingo egy’oluvannyuma. Kubanga obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa, bibyo, emirembe n’emirembe. Amiina
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.