Add parallel Print Page Options

14 (A)Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.

Ekkondeere ery’Omusanvu

15 (B)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,

“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
    bwa Mukama waffe ne Kristo we,
    era anaafuganga emirembe n’emirembe.”

16 (C)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 (D)nga bagamba nti,

“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    ggwe aliwo kati era eyaliwo,
kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,
    Era ofuga.
18 (E)Amawanga gaakunyiigira,
    naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo
era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,
    n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,
n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo
    abakulu n’abato,
n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”

19 (F)Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.

Read full chapter