Zabbuli 19:1-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
    ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
    era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
    era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
    bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5     Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
    era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
    ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
    era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.